Sunday 14 August 2011

Judith Babirye - Mpambatira


(hook)
mpambatira mukama 
(mpambatira mukama)
taata mpambatira kabaka (onsitule)
taata mpambatira kabaka wange
(mpambatira mukama)
mpambatira mukama, omponye ensi eno
taata nga mpeddemu amanyi
mpambatira mukama 
taata mpambatira nze (onsitule)
taata (mpambatira kabaka wange)
mpambatira mukama (ooh mpambatira kitange)
omponye ensi eno
mukama nga mpeddemu essuubi
mpambatira mukama
taata mpambatira nze (onsitule)
taata (mpambatira mukama wange)
mpambatira mukama (ooh mpambatira onyweeze)
omponye ensi eno
mukama nga ssirina asobola (mpambatira mukama)
mukama nga tewali ayamba (onsitule taata)
nsitula kabaka (mpambatira mukama)
oohhh mpambatira kitange (omponye ensi eno)
mukama nga amataba manji 
(mpambatira mukama)
taata nga omuyaga gukuta (onsitule taata)
mukama nsitula kitange (mpambatira mukama)
ohh mpambatira mukama (omponye ensi eno)
ohh mpambatira katonda wange 
(mpambatira mukama)
mpambatira nze (onsitule taata)
ohhhh (mpambatira mukama)
ooh mpambatira kabaka (omponye ensi eno)
mukama ye ggwe musuumba wange

(chorus)
omutima..
ohh omutima gunnuma, guyayaana, guyayaana
guyayaana, guyayaana, gwaagala katonda wange
(mukama naye omutima..)
ohhh omutima gunnuma, guyayaana, guyayaana
guyayaana, guyayaana, gwaagala katonda wange
(mukama ekiro nga nneebase)
ohhh omutima gunnuma, guyayaana, guyayaana
guyayaana, guyayaana, gwaagala katonda wange
(wensiinza, daddy, omutima)
ohhh omutima gunnuma, guyayaana, guyayaana
guyayaana, guyayaana, gwaagala katonda wange

(hook)
mpambatira mukama onsitule
taata mpambatira mukama 
(mukama nzijaayo wansi eyo)
omponye ensi eno
(mukama mpanirira kitange)
mpambatira mukama (nzijaayo mu lutusi) onsitule taata
(mukama nsitula mu gunya wansi)
mpambatira mukama omponye ensi eno
(mukama naayita ani nze)
mpambatira mukama
ye nze naakabira ani oyo 
mukama nsigaza gwe wekka
mukama mpambatira nze
taata mpambatira mukama
taata mpambatira nze
kabiite, mpambatira kabiite wange
mukama mpambatira nze
nga ntidde mpambatira onyweeze

(chorus x3)
ohh omutima gunnuma, guyayaana, guyayaana
guyayaana, guyayaana, gwaagala katonda wange

siinza ohh mutima, ohh yesu wange
mpambatira kitange
guyayaaana...
ohh taata nkoowola gwe wekka

Leila Kayondo - Kiruma Nnyo

heey kiruma nnyo
hmmm hmmm
(verse 1)
ndi mukazi muto nsiiba njiiya 
nze byenkuwa gwe, binji ssibala nze (ohh)
yadde nga ebikemo binji bijja ssibifaako
 muli njagala gwe (ooh no no)
eyo mukiro obeera safari
mbeera ntyaamu nga ndi nzekka (oh no no no)
singa okkiriza buli kyensaba
nze nandi nsabye nga onjagale nga (heyy)

(chorus x2)
mazima kiruma nnyo okulaba oyo gwoyagala
nga takuliiko, takufaako
naye ate kyewunyisa okulaba naye gwayagala
nga tamuliiko, tamufaako

(verse 2)
omuntu yesanyuse nga negwayagala, muli gwabiita (ohh)
kiruma nnyo dear gwe bwo'nsiraanya bwotyo
kyensabye - tonfaako (ohh no no)
eyo mukiro nsiiba ndoota nti tonjagala
kyuusa empisa yii mukwano
singa omulamuzi yali wano, nze nandi nkuloopye
no'bako kyokola

(chorus x2)
mazima kiruma nnyo okulaba oyo gwoyagala
nga takuliiko, takufaako
naye ate kyewunyisa okulaba naye gwayagala
nga tamuliiko, tamufaako

(verse 3)
mubutuufu nkoze ntya okufuuna omubeezi ananjagala, atanjuuze
oh mama nkoze ntya okufuuna omutuufu, anammatira, atambuuke
kubanga mbonyebonye nnyo, ebyomukwaano bintamye
omuntu no'mweewa, ate yye nakuluumya
omutima gumenyesse nnyo, ebiwuundu binnuma
nze noonya anabiwoonya
amundabira amugambe

(chorus x2)
mazima kiruma nnyo okulaba oyo gwoyagala
nga takuliiko, takufaako
naye ate kyewunyisa okulaba naye gwayagala
nga tamuliiko, tamufaako




yeaah.. kiruma nnyo
takuliiko, heeyy heeyy