Friday 29 July 2011

Blue 3 - Omukwaano Guno


(verse 1)
nzijukira jetwasokera eri
nzijukira jetwayita
banji balowooza nti bya'k'ba
twamala netuwangula
ebizibu byetwalaba byo 
byayongera kutunyweza
ebigezo bye'nsi eno binji
naffe mazima mwetwayita
awataali kya'buggaga kyonna
nga olina nze 
nange nga nina gwe 
(hey yeah yeah)

(chorus)
omukwano guno omunene
(guvudde wala... guno munene)
omukwano guno omussufu
(tuvudde wala... guno omussufu)
omukwano guno tugukuume
(kuba guvudde wala)
tugukuume kuba tuvudde wala

(verse 2)
nzijukira bwe'wampita nga
nga osobeddwa omukwano gukuluma
oluusi noninda nga
nebangaana okukulaba
nzijukira we'tweekweka nga
nga ekyaama kyaffe kyitwookya
no'bugambo bwe'wangaamba nga
nebunsuza nga malayika
awataali kya'buggaga kyonna
nga olina nze 
nange nga nina gwe 
(hey yeah yeah)

(chorus)
omukwano guno omunene
(guvudde wala... guno omunene)
omukwano guno omussufu
(tuvudde wala... guno omussufu)
omukwano guno tugukuume
(kuba guvudde wala)
tugukuume kuba tuvudde wala

(verse 3)
nzijukira luri ffena nga tuli bato
nzijukira luri nga twakelaba
nondeetela akamuli ka roozi akasanyusa
no'nsaba nti mbeere muno ohh
wangaamba nti obuggaga tolina
nga era nange nali nkiraba kuba wali muto
akaseko kange ka'kulaga nti nzikiriza
olwo ne'ndaba amaziga mu mmaaso go nga gakulukuta
ohh yeaaah

(chorus till end)
omukwano guno omunene
(tuvudde wala...)
omukwano guno omussufu
(tuvudde wala...)
omukwano guno tugukuume
(kuba guvudde wala)
tugukuume kuba tuvudde wala
transcribed by: fizzo foren

No comments:

Post a Comment