(verse 1)
njagala onjagale nga nze bwenkwagala mwami wange
njagala onesige nga nze bwenkwesiga
olekere awo okuyomba munange
okomye okunsojasoja ahh
manya nti mutima gwange gwomenya
era omanye nti obulamu bwange bundi mu gwe
njagala manye kyenakola
ekyakunyiza nkyuusemu
kuba newuunya nnyo ekikutuusa kwekyo kyi
(chorus)
ndaba okyuuse (munaye)
ndaba ogenda (mukwaano)
bino ssi byetwaalagaana
abaana onobagamba kyi nga twawukanye
(verse 2)
mazima wasuubiza taata ne maama
neweewayo okundabirira
awala ne ssenga nankuutira nze
nkusiimbe ekitibwa nkugondere
mazima nabuli kimu nkikola
kale wobawo nonjiwawo
okudda nga weelabidde
njagala otunule jetuvudde
mukwano tonswaaza
(chorus)
ndaba okyuuse (munaye)
ndaba ogenda (mukwaano)
bino ssi byetwaalagaana
abaana onobagamba kyi nga twawukanye
(verse 3)
ogenda nondekawo wano awaka
nga ekiwuubalo kinzita
normally nsigala awo obwomu
gwe ogenze kwekyakalira
ate okimanyi nkyali kyikyuukyu
nyumirwa amassanyu nange
kati osuubira nti eno jensigala nsobola okukwesiga
ndi kakasa ntya ebyo byempulira
nti bibeera biwaayire
(chorus)
ndaba okyuuse (munaye)
ndaba ogenda (mukwaano)
bino ssi byetwaalagaana
abaana onobagamba kyi nga twawukanye
bino ssi byetwaalagaana
ndaba okyuuse
bino ssi byetwaalagaana
njagala manye kyenakola
ekyakunyiiza nkyuusemu
(chorus)
ndaba okyuuse (munaye)
ndaba ogenda (mukwaano)
bino ssi byetwaalagaana
abaana onobagamba kyi nga twawukanye
(verse 4)
naye gwe tokyilaba nti osaanira okyuuse mu nneyisa
oli gwe wandi ssanyuse singa nze abakola byokola
ndowooza tokyimanyi nti ninayo abanegomba nange banji
(ndaba okyuuse)
oba tokyimanyi nti nabo baba basajja nga gwe
(ndaba ogenda)
ndowooza oyagale male kusituka
nzije nkulumbe
kuzi malaya zo nkuswaaze
anti mwegaana gaana
(bridge)
ndaba okyuuse
(kyuusa ku lwa baana baffe)
ndaba ogenda
bino ssi byetwaalagaana
(jukira byetwayita mu)
abaana onobagamba kyi nga twawukanye
(kyuusa kyuusa)
(chorus till end)
ndaba okyuuse (munaye)
ndaba ogenda (mukwaano)
bino ssi byetwaalagaana
No comments:
Post a Comment